1 Kings 14:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nsi mwalimu ne bamalaaya ab'omu biggwa abasajja; ne bakola ebyenyinyalwa eby'amawanga Omukama ge yagoba mu maaso g'Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era waaliwo n’abaalyanga ebisiyaga mu nsi, ne bakolanga eby’emizizo byonna abamawanga Katonda be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri bye baakolanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era waaliwo n'abaalyanga ebisiyaga mu nsi: ne bakola ng'eby'emizizo byonna bwe byali eby'amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu nsi eyo mwalimu abasajja abaakolanga ebibi by'obwamalaaya ku basajja bannaabwe. Ne bakolanga byonna ebyenyinyalwa eby'ab'amawanga amalala Mukama be yagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli bajja okugibeeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era waaliwo n'abaalyanga ebisiyaga mu nsi: ne bakola ng'eby'emizizo byonna bwe byali eby'amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.