1 Kings 14:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'atwala amakula g'Ekiggwa ky'Omukama n'amakula ga kabaka, na byonna omwali n'engabo zonna eza zaabu Solomoni ze yali akoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atwala eby’obugagga eby’omu yeekaalu ya Mukama, n’ebyobugagga eby’omu lubiri lwa kabaka byonna, ng’okwo kw’otadde engabo eza zaabu Sulemaani ze yali akoze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'aggyayo eby'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka; yatwalira ddala byonna: n'aggyayo engabo zonna eza zaabu Sulemaani ze yali akoze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'anyaga ebyobugagga eby'omu Ssinzizo n'eby'omu lubiri lwa kabaka, byonna n'abitwala. N'atwala n'engabo zonna eza zaabu, Solomooni ze yali aweesezza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'aggyayo eby'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka; yatwalira ddala byonna: n'aggyayo engabo zonna eza zaabu Sulemaani ze yali akoze.