1 Kings 14:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kifo kyazo kabaka Rekobowamu n'akola engabo ez'ekikomo, n'azikwasa abaduumira abakuumi abaakuumanga mu maaso g'olubiri lwa kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Lekobowaamu n’akola engabo ez’ebikomo okuzzaawo ziri, era n’azikwasa abaduumizi b’abambowa abaakuumanga wankaaki w’olubiri lwa kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Lekobowaamu n'akola engabo za bikomo okudda mu kifo kyazo, n'aziteresa mu mikono gy'abakulu b'ambabowa abaakuumanga oluggi lw'ennyumba ya kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Rehobowaamu n'aweesa engabo ez'ekikomo okudda mu kifo ky'ezo, n'azikwasa abakulu b'abaggazi, abaakuumanga wankaaki w'olubiri lwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Lekobowaamu n'akola engabo za bikomo okudda mu kifo kyazo, n'aziteresa mu mikono gy'abakulu b'ambabowa abaakuumanga oluggi lw'ennyumba ya kabaka.