1 Kings 14:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka bwe yabanga agenda mu Kiggwa ky'Omukama, abakuumi nga bambalira engabo, oluvannyuma baazizzangayo mu buzigo bw'abakuumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli Kabaka lwe yalaganga mu yeekaalu ya Mukama, abambowa ne bambalira engabo ezo, era Oluvannyuma ne bazizaayo mu kisenge ky’abambowa we zaaterekebwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka kabaka buli lwe yayingiranga mu nnyumba ya Mukama, abambowa ne bazambalanga ne bazizza mu nju ey'abambowa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka buli lwe yayingiranga mu Ssinzizo, abakuumi nga bazikwata ne bazisitula, n'oluvannyuma ne bazizzaayo mu nnyumba yaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka kabaka buli lwe yayingiranga mu nnyumba ya Mukama, abambowa ne bazambalanga ne bazizza mu nju ey'abambowa.