1 Kings 14:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twala emigaati kkumi, obundaazi n'ensumbi y'omubisi gw'enjuki ogende gy'ali; oyo ajja kukumanyisa ekinaatuuka ku mwana.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Twala emigaati kkumi, ne bukeeke, n’ensumbi ey’omubisi gw’enjuki, ogende gy’ali era ye alikubuulira omwana bw’aliba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era twala wamu naawe emigaati kkumi (10), n'emirala egy'empewere n'ensumbi ey'omubisi gw'enjuki, ogende gy'ali: ye alikubuulira omwana bw'aliba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Otwale emigaati kkumi, ne capati, n'eccupa y'omubisi gw'enjuki, ogende gy'ali. Anaakubuulira omwana bw'anaabeera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era twala wamu naawe emigaati kkumi n'egy'empewere n'ensumbi ey'omubisi gw'enjuki, ogende gy'ali: ye alikubuulira omwana bw'aliba.