1 Kings 14:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rekobowamu n'agalamira ne bajjajjaabe, n'aziikibwa nabo mu Kibuga kya Dawudi. Erinnya lya nnyina ye yali Naama, Omwammoni. Abiya mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, era n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi. Nnyina yayitibwanga Naama Omwamoni. Abiyaamu mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: ne nnyina erinnya lye lyali Naama Omwamoni. Abiyaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rehobowaamu n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe, mu Kibuga kya Dawudi. Nnyina Rehobowaamu yali Naama, nga Mwammoni. Mutabani we Abiyaamu n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajiajjaabe mu kibuga kya Dawudi: ne nnyina erinnya lye lyali Naama Omwamoni. Abiyaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.