1 Kings 14:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukazi wa Yerobowamu n'akola nga bwe yagamba, n'agenda e Silo, n'ajja mu nnyumba ya Akiya. Kati nno Akiya yali tasobola kulaba, amaaso ge gaali gazibye olw'obukadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo muka Yerobowaamu n’akola bw’atyo, n’agenda ewa Akiya e Siiro. Akiya yali muzibe, kubanga amaaso ge gaali gayimbadde olw’obukadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo muka Yerobowaamu n'akola bw'atyo, n'agolokoka n'agenda e Siiro n'ajja mu nnyumba ya Akiya. Era Akiya teyayinza kulaba; kubanga amaaso ge gaali gayimbadde olw'obukadde bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo muka Yerobowaamu n'akola bw'atyo, n'asituka n'agenda e Siilo, n'ayingira mu nnyumba ya Ahiya. Ahiya yali takyayinza kulaba. Amaaso ge gaali gayimbadde olw'obukadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo muka Yerobowaamu n'akola bw'atyo, n'agolokoka n'agenda e Siiro n'ajja mu nnyumba ya Akiya. Era Akiya teyayinza kulaba; kubanga amaaso ge gaali gayimbadde olw'obukadde bwe.