1 Kings 14:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yali agambye Akiya nti: “Muka Yerobowamu wuuyo ajja okukwebuuzaako ebifa ku mutabani we kubanga mulwadde; mugambe bino na bino. Bw'anaayingira ajja kubeera nga yeebuzizzabuzizza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama yali alabudde Akiya nga muka Yerobowaamu bw’anajja okumubuuza ebifa ku mutabani waabwe, eyali alwadde era nga bw’ajja okumuddamu, nga bw’anaatuuka ajja kwefuula okuba omuntu omulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'agamba Akiya nti Laba, muka Yerobowaamu ajja okukubuuza ebya mutabani we; kubanga alwadde: bw'oti bw'onoomugamba: kubanga olunaatuuka bw'anaayingira, aneefuula okuba omukazi omulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Ahiya nti: “Muka Yerobowaamu wuuyo ajja okukwebuuzaako mutabani we bw'anaabeera, kubanga mulwadde. Ojja kumugamba bw'oti ne bw'oti, kubanga bw'anaatuuka, ajja kwefuula omukazi omulala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'agamba Akiya nti Laba, muka Yerobowaamu ajja okukubuuza ebya mutabani we; kubanga alwadde: bw'oti bw'oti bw'onoomugamba: kubanga olunaatuuka bw'anaayingira, aneefuula okuba omukazi omulala.