1 Kings 14:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akiya olwawulira ebigere bye ng'ayingira mu mulyango, n'agamba nti: “Yingira, muka Yerobowamu. Lwaki weebuzaabuza? Ntumiddwa gy'oli n'amawulire, naye nga si malungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Akiya bwe yawulira enswagiro ku mulyango, n’amugamba nti, “Yingira muka Yerobowaamu. Lwaki weefuula okuba omuntu omulala? Ntumiddwa gy’oli n’amawulire amabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Akiya bwe yawulira enswagiro z'ebigere bye ng'ayingira mu luggi, n'ayogera nti Yingira, ggwe muka Yerobowaamu; lwaki okwefuula okuba omulala? Kubanga ntumiddwa gy'oli n'ebigambo ebizito.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ahiya bwe yawulira enswagiro z'ebigere bya muka Yerobowaamu ng'atuuse ku mulyango ayingire, n'agamba nti: “Yingira ggwe muka Yerobowaamu. Lwaki weefuula omuntu omulala? Bye ntumiddwa okukugamba si birungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Akiya bwe yawulira enswagiro z'ebigere bye ng'ayingira mu luggi, n'ayogera nti Yingira, ggwe muka Yerobowaamu; lwaki okwefuula okuba omulala? kubanga ntumiddwa gy'oli n'ebigambo ebizito.