1 Kings 14:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Genda ogambe Yerobowamu nti: ‘Omukama, Katonda wa Yisirayeli agamba kino: “Nakugulumiza mu bantu, ne nkufuula omukulembeze w'abantu bange Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Genda ogambe Yerobowaamu nti kino Mukama, Katonda wa Isirayiri ky’agamba nti, ‘Nakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulembeze wa bantu bange Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Genda obuulire Yerobowaamu nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Kubanga nnakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulu w'abantu bange Isiraeri,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Genda otegeeze Yerobowaamu nti Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nakugulumiza, ne nkuggya mu bantu abaabulijjo, ne nkufuula omufuzi w'abantu bange Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Genda obuulire Yerobowaamu nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Kubanga nakugulumiza nga nkuggya mu bantu, ne nkufuula omukulu w'abantu bange Isiraeri,