1 Kings 14:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwakabaka nabuyuza ku nnyumba ya Dawudi ne mbukuwa, naye ggwe tobadde nga muweereza wange Dawudi eyakwata ebiragiro byange, n'angoberera n'omutima gwe gwonna, ng'akola bituufu byokka mu maaso gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naggya obwakabaka mu nnyumba ya Dawudi, ne mbukuwa, naye tobadde ng’omuddu wange Dawudi, eyagondera ebiragiro byange era n’abigoberera n’omutima gwe gwonna, ng’akola ekyo ekyali ekirungi mu maaso gange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne njuza mu bwakabaka nga mbuggya ku nnyumba ya Dawudi ne mbukuwa ggwe: era naye tobadde ng'omuddu wange Dawudi eyakwatanga ebiragiro byange era eyangoberera n'omutima gwe gwonna okukola ekyo kyokka ekyali mu maaso gange ekirungi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naggya obwakabaka ku b'ennyumba ya Dawudi, ne mbuwa ggwe. Naye tobadde ng'omuweereza wange Dawudi, eyakwata ebiragiro byange, n'annywererako n'omutima gwe gwonna, n'akolanga ebyo byokka bye nsiima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)