1 Kings 14:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyonoonye n'okukira bonna abaakukulembera. Weekolera ne balubaale, n'ebifaananyi byabwe ebisaanuuse. Onnyiizizza, n'onkuba amabega.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyonoonye nnyo okusinga bonna abaakusooka. Weekoledde bakatonda abalala, n’okola n’ebifaananyi ebisaanuuse n’onneerabira; onsunguwazizza nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye okoze ekibi okusinga bonna abaakusooka n'ogenda ne weekolera bakatonda abalala n'ebifaananyi ebisaanuuse okunsunguwaza, n'onsuula ennyuma w'amabega go:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe okoze ebibi okusinga bonna abaakusooka okufuga. Onkubye amabega n'ogenda weekolera balubaale, n'ebifaananyi mu bintu ebisaanuuse, n'osinza ebyo, n'onsunguwaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye okoze ekibi okusinga bonna abaakusooka n'ogenda ne weekolera bakatonda abalala n'ebifaananyi ebisaanuuse okunsunguwaza, n'onsuula ennyuma w'amabega go: