1 Kings 15:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obwakabaka bwa Yerobowamu, mutabani wa Nebati, Abiya n'afuuka kabaka wa Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Abiyaamu n’atandika okufuga Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'obufuzi bwa kabaka Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Abiyaamu n'atandika okufuga Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obufuzi bwa Kabaka Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, Abiyaamu n'afuuka kabaka wa Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Yerobowaamu kabaka mutabani wa Nebati, Abiyaamu n'atanula okufuga Yuda.