1 Kings 15:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Maaka nnyina n'amuggya ku bwa nnamasole, kubanga yakola ekyenyinyalwa eky'empagi ya Asera. Asa yasigulawo ekyenyinyalwa ky'empagi n'agyokera mu Kiwonvu Kiduroni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’agoba ne jjajjaawe Maaka ku bwa namasole kubanga yali akoze empagi ya Asera. Asa n’agitema era n’agyokera ku kagga Kidulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne Maaka nnyina n'amugoba ku bwa nnamasole: n'atemaatema ekifaananyi kya Asera kye yakola n'akyokera ku kagga Kidulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agoba ne Maaka nnyina, ku bwannamasole, kubanga Maaka oyo yakola ekifaananyi ekizira eky'okusinzizaako Asera. Asa n'atemaatema ekifaananyi ekyo, n'akyokera ku kagga Kidurooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne Maaka nnyina n'amugoba mu bwa nnamasole kubanga yali akoze ekifaananyi eky'omuzizo okuba Asera; Asa n'atema ekifaananyi kye n'akyokera ku kagga Kiduloni.