1 Kings 15:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebifo ebigulumivu teyabiggyawo, naye kwo okuba omutima gwa Asa gwemaliza Omukama ennaku ze zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, omutima gwe gwali ku Mukama ennaku ze zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: naye omutima gwa Asa gwatuukirira eri Mukama ennaku ze zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Asa newaakubadde nga teyamalirawo ddala bifo bigulumivu eby'oku busozi bye basinzizaamu balubaale, kyokka mu bulamu bwe bwonna yali mwesigwa eri Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo: naye omutima gwa Asa gwatuukirira eri Mukama ennaku ze zonna.