1 Kings 15:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baasa kabaka wa Yisirayeli yalumba Yuda, n'azimba ekigo ku Rama wabulewo afuluma okugenda oba ayingira ng'ava ewa Asa kabaka wa Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baasa kabaka wa Isirayiri n’alumba Yuda n’azingiza Laama obutaganya muntu n’omu okufuluma wadde okuyingira mu kitundu kya Asa kabaka wa Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'awamba ekibuga Laama naakizimbako ekigo waleme kubeerawo muntu asobola kuva mu Yuda wadde okugendayo okutuuka ku Asa, kabaka waayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Baasa owa Yisirayeli n'alumba Buyudaaya. N'azimba ekigo ekigumu ku kibuga Raama, waleme kubaawo asobola kuva mu Buyudaaya, wadde okugendayo, okutuuka ku Asa, Kabaka waayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'azimba Laama, obutaganya muntu kufuluma newakubadde okuyingira eri Asa kabaka wa Yuda.