1 Kings 15:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asa n'addira ffeeza yenna ne zaabu eyali asigadde mu nkuluze y'Ekiggwa ky'Omukama ne mu nkuluze y'olubiri lwa kabaka, n'abiwa abaweereza be, n'abiweereza ewa Beni-Adadi mutabani wa Taburimmoni, mutabani wa Keziyoni, kabaka wa Aramu eyafugiranga e Damasiko, n'agamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Asa n’addira effeeza ne zaabu yonna eyali esigadde mu ggwanika lya yeekaalu ya Mukama n’ey’olubiri lwe, n’abikwasa abakungu be, n’abiweereza Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni, muzzukulu wa Keziyoni, eyali kabaka wa Busuuli ng’afugira e Ddamasiko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Asa n'ajjayo zaabu n'effeeza n'eby'obugagga ebyali bisigadde mu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka n'abikwasa abaddu be babitwalire Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni mutabani wa Keziyoni kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera nti
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Asa n'aggyayo ffeeza yenna ne zaabu eyali asigadde mu ggwanika ly'Essinzizo n'ery'olubiri lwe, n'amukwasa abaweereza be bamutwalire Benihadadi, kabaka wa Siriya, era eyabeeranga e Damasiko. Benihadadi oyo, ye mutabani wa Taburimmooni era muzzukulu wa Heziyooni. Ng'amutumira nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Asa n'addira effeeza yonna n'ezaabu eyali esigadde mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka n'abikwasa mu mikono gy'abaddu be: kabaka Asa n'abiweereza Benikadadi mutabani wa Tabulimmoni mutabani wa Keziyoni kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera nti