1 Kings 15:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tukole endagaano wakati wange naawe, ng'eyaliwo wakati wa kitange ne kitaawo; kyenvudde nkuweereza ebirabo ebya ffeeza ne zaabu, era nkusaba omenyewo endagaano gy'olina ne Baasa kabaka wa Yisirayeli, anveeko.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogera nti, “Wabeewo endagaano wakati wo nange, ng’eyaliwo wakati wa kitaawo ne kitange. Laba nkuweereza ekirabo ekya ffeeza ne zaabu, omenyewo kaakano endagaano yo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tukole endagaano ey'okukolaganira awamu, nga bakitaffe gye baakola. Laba nkuweerezza ekirabo ekya ffeeza ne zaabu. Genda omenyewo endagaano yo ey'enkolagana ne Baasa, kabaka wa Isiraeri alyoke aggye amagye ge mu nsi yange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tukole endagaano ey'okukolaganira awamu, nga bakitaffe gye baakola. Laba nkuweerezza ekirabo ekya ffeeza ne zaabu. Genda omenyewo endagaano yo ey'enkolagana ne Baasa, Kabaka wa Yisirayeli alyoke aggye amagye ge mu nsi yange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo endagaano eri nze naawe, eri kitange ne kitaawo: laba, nkuweerezza ekirabo kya ffeeza n'ezaabu; genda omenye endagaano yo eri Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko.