1 Kings 15:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beni-Adadi n'akkiriza ebya Asa, n'asindika abagabe b'eggye mu bibuga bya Yisirayeli, ne bakuba Yiyoni, Daani, Abeli-Beti-Maaka, Kinnereti n'ensi yonna eya Nafutali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Benikadadi n’akkiriziganya ne kabaka Asa era n’aweereza abaduumizi b’eggye lye okulumba ebibuga bya Isirayiri. N’akuba Iyoni, ne Ddaani, ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna ng’okwo kw’otadde Nafutaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Benikadadi n'akkiriza ebigambo bya kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri, n'awamba ebibuga Iyoni ne Ddaani ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna n'ekitundu kyonna ekya Nafutaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Benihadadi n'akkiriza ebya Kabaka Asa n'atuma abaduumizi b'eggye lye okulumba ebibuga bya Yisirayeli, n'awamba ebibuga Yiyoni, ne Daani, ne Abeli Beeti Maaka, ne Kinerooti, n'ekitundu kyonna ekya Nafutaali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Benikadadi n'awulira kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri, n'akuba Iyoni ne Ddaani ne Aberubesumaaka ne Kinnerosi yonna n'ensi yonna eya Nafutaali.