1 Kings 15:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baasa bwe yawulira bino, n'alekera awo okuzimba Rama, n'addayo e Tiruza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Baasa bwe yakiwulira n’alekeraawo okuzimba Laama, n’addukira e Tiruza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baasa n'alekerawo okuzimba ekigo ku kibuga Laama n'agenda n'abeeranga e Tiruza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Baasa bwe yawulira ebiguddewo, n'alekera awo okuzimba ekigo ekigumu ku Kibuga Raama, n'agenda n'abeeranga e Tiruza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Baasa bwe yakiwulira n'aleka okuzimba Laama n'abeeranga e Tiruza.