1 Kings 15:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Asa n'ayita Yuda yenna, awatali kutaliza n'omu; ne baggya e Rama amayinja n'emiti Baasa bye yali azimbisa, kabaka Asa n'abyeyamba okuzimba Geba ekya Benyamiini ne Mizupa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Asa n’awa ekiragiro mu Yuda yonna nga kikwata ku buli muntu. Ne batwala amayinja ag’e Laama n’embaawo Baasa bye yazimbisanga, kabaka Asa n’abizimbisa Geba ekya Benyamini, ne Mizupa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Asa n'akuŋŋaanya aba Yuda bonna awatali kulekayo n'omu, ne baggyawo amayinja n'emiti kabaka Baasa by'eyazimbisa ekibuga Laama, Asa n'abizimbisa ebibuga Geba ekya Benyamini ne Mizupa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Asa n'akunga Abayudaaya bonna awatali kutaliza n'omu, ne bagenda ne baggya e Raama amayinja n'emiti Baasa bye yazimbisa. Asa n'abizimbisa ebibuga Mizupa ne Gepa eky'omu kitundu kya Benyamiini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Asa n'alangira Yuda yenna; tewali eyaggibwako; ne baggyawo amayinja ag'e Laama, n'emiti gyakyo, Baasa bye yazimbya; kabaka Asa n'abizimbisa Geba ekya Benyamini ne Mizupa.