1 Kings 15:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo byonna ebya Asa, obuwanguzi bwe, byonna bye yakola, n'ebibuga bye yazimba, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda. Kyokka mu bukadde bwe ebigere bye byalwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala byonna eby’omu mirembe gya Asa, n’obuwanguzi bwe era n’ebibuga bye yazimba, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Kyokka mu bukadde bwe, n’alwala ebigere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikolwa ebirala byonna ebya Asa n'amaanyi ge gonna ne byonna bye yakola n'ebibuga bye yazimba byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda. Mu kiseera eky'obukadde bwe n'alwala ebigere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebirala byonna Asa bye yakola omuli n'ebikolwa bye eby'obuzira, n'ebibuga bye yazimbako ebigo ebigumu, byonna byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Naye mu kiseera eky'obukadde bwe n'alwala ebigere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Asa n'amaanyi ge gonna ne byonna bye yakola n'ebibuga bye yazimba tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? Naye mu kiseera eky'obukadde bwe n’alwala ebigere.