1 Kings 15:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agalamira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikibwa wamu nabo mu Kibuga kya Dawudi jjajjaawe. Yosafati mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu kibuga kya jjajjaawe Dawudi. Yekosafaati, mutabani we n’amusikira, n’alya obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe: Yekosafaati mutabani we n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Asa n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu masiro gaabwe mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe. Mutabani we Yehosafaati n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi kitaawe: Yekosafaati mutabani we n'afuga mu kifo kye.