1 Kings 15:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nadabu mutabani wa Yerobowamu yafuuka kabaka wa Yisirayeli mu mwaka ogwokubiri ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afuga Yisirayeli emyaka ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n’alya obwakabaka bwa Isirayiri mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda. Yafugira Isirayiri emyaka ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n'atandika okufuga Isiraeri mu mwaka ogwokubiri ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afugira Isiraeri emyaka ebiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwokubiri nga Asa ye kabaka wa Buyudaaya, Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira emyaka ebiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Nadabu mutabani wa Yerobowaamu n'atanula okufuga Isiraeri mu mwaka ogw'okubiri ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afugira Isiraeri emyaka ebiri.