1 Kings 15:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baasa mutabani wa Akiya ow'omu nnyumba ya Yissakari yamwekobera n'amuttira e Gibbetoni ekibuga ky'Abafilisitiini, nga Nadabu ne Yisirayeli yenna bazinze Gibbetoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Baasa mutabani wa Akiya ow’omu nnyumba ya Isakaali n’amukolera olukwe, n’amuttira e Gibbesoni ekibuga ky’Abafirisuuti, Nadabu ne Isirayiri yenna bwe baali bakitaayizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Baasa mutabani wa Akiya ow'omu nnyumba ya Isakaali n'akolera Nadabu olukwe n'amuttira e Gibbesoni eky'Abafirisuuti Nadabu n'aba Isiraeri kye baali bazingizizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Baasa mutabani wa Ahiya ow'omu Kika kya Yissakaari ne yeekobera Nadabu n'amuttira e Gibbetooni eky'Abafilistiya, Nadabu n'Abayisirayeli bonna kye baali bazingizizza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Baasa mutabani wa Akiya ow'omu nnyumba ya Isakaali n'amwekobaana; Baasa n'amukubira e Gibbesoni eky'Abafirisuuti; kubanga Nadabu ne Isiraeri yenna baali bazingizizza Gibbesoni.