1 Kings 15:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baasa yamutta mu mwaka ogwokusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baasa n’atta Nadabu mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, ye n’alya obwakabaka bwa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogwokusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mwe yattira Nadabu, ye n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yamuttira mu mwaka ogwokusatu nga Asa ye kabaka wa Buyudaaya, Baasa n'asikira Nadabu ku bwakabaka bwa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'okusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda Baasa mwe yamuttira, n'afuga mu kifo kye.