1 Kings 15:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yafuuka kabaka, n'atta ennyumba ya Yerobowamu yonna; teyatalizaamu muntu n'omu, bonna n'abasaanyaawo, ng'Omukama bwe yali agambye ng'ayita mu muweereza we Akiya ow'e Silo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago nga kyajje alye obwakabaka, n’atta ennyumba ya Yerobowaamu yonna n’atalekaawo muntu n’omu omulamu. Yabazikiriza bonna ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu muddu we Akiya Omusiiro,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Baasa olw'amala okufuuka kabaka, n'atta ab'ennyumba ya Yerobowaamu bonna, n'abazikiririza ddala obutalekaawo n'omu nga mulamu, nga Mukama bwe yayogera ng'ayita mu muddu we Akiya Omusiiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Baasa olwamala okufuuka kabaka, n'atta ab'ennyumba ya Yerobowaamu bonna, n'abazikiririza ddala obutalekaawo n'omu nga mulamu, nga Mukama bwe yayogera ng'ayita mu muweereza we Ahiya, Omusiilo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka amangu ago bwe yalya obwakabaka, n'atta ennyumba yonna eya Yerobowaamu; teyamulekera Yerobowaamu n'omu eyassa omukka okutuusa lwe yamuzikiriza; ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama kye yayogera n'omukono gw'omuddu we Akiya Omusiiro: