1 Kings 15:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ebibi byonna kitaawe eyamukulembera bye yali akoze, n'omutima gwe tegwemaliza Mukama Katonda we obutafaanana ng'omutima gwa bwe gwali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola ebibi byonna kitaawe bye yakolanga, omutima gwe ne gutatuukirira mu maaso ga Mukama Katonda we ng’omutima gwa jjajjaawe Dawudi bwe gwali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abiyaamu nnakola ebibi byonna nga kitaawe bye yakola. Omutima gwe ne gutanywerera ku Mukama Katonda we ng'omutima gwa jjajjaawe Dawudi nga bwe gwali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abiyaamu oyo n'akola ebibi nga kitaawe bye yakola, n'atanywerera ku Mukama, Katonda we, nga jjajjaawe Dawudi bwe yamunywererako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atambulira mu bibi byonna ebya kitaawe bye yakola okumusooka: n'omutima gwe tegwatuukirira eri Mukama Katonda we ng'omutima gwa Dawudi kitaawe.