1 Kings 15:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entalo tezaatanga wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Yisirayeli ennaku zaabwe zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isirayiri, ennaku zonna ez’okufuga kwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wabangawo entalo wakati wa Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zonna ze baafugiramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Asa kabaka wa Buyudaaya, ne Baasa kabaka wa Yisirayeli baalwanagananga mu ntalo mu kiseera kyonna eky'obufuzi bwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wabanga entalo eri Asa ne Baasa kabaka wa Isiraeri ennaku zaabwe zonna.