1 Kings 15:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogwokusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mutabani wa Akiya n'afuuka kabaka wa Yisirayeli mu Tiruza, yafugira emyaka amakumi abiri mu ena.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Baasa mutabani wa Akiya n’afuuka kabaka wa Isirayiri yonna e Tiruza, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu ena.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogwokusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda Baasa mutabani wa Akiya n'atanula okufuga Isiraeri yenna e Tiruza, n'afugira emyaka abiri mu ena (24).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwokusatu nga Asa ye kabaka wa Buyudaaya, Baasa mutabani wa Ahiya n'afuuka kabaka wa Yisirayeli yonna, n'afugira e Tiruza emyaka amakumi abiri mu ena.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'okusatu ogwa Asa kabaka wa Yuda Baasa mutabani wa Akiya n'atanula okufuga Isiraeri yenna e Tiruza, n'afugira emyaka amakumi abiri mu ena.