1 Kings 15:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama n'agoberera amakubo ga Yerobowamu n'ebibi bye bye yakola n'aleetera ne Yisirayeli okubigwamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za Yerobowaamu, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kwonoona kwe kweyayonoonyesa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola ebinyiiza Mukama, nga Yerobowaamu bye yakola, era n'agoberera Yerobowaamu mu kukola ekibi ekyaleetera Yisirayeli okwonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kwonoona kwe kwe yayonoonyesa Isiraeri.