1 Kings 15:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye olw'okubeera Dawudi, Omukama Katonda we yamuwa omumuli mu Yeruzaalemu, n'asitusaawo mutabani we ow'okumusikira, okukuuma Yeruzaalemu nga kigumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ku lwa Dawudi, Mukama Katonda we n’amuteerawo ettabaaza mu Yerusaalemi era n’ayimusa ne mutabani we okumusikira, era n’okunyweza Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wabula ku lwa Dawudi, Mukama Katonda we n'amuwa omwana ow'obulenzi okumusikira ku ntebe ey'obwakabaka mu Yerusaalemi, n'okukuuma Yerusaalemi nga kiri mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula ku lwa Dawudi, Mukama, Katonda we n'amuwa omwana ow'obulenzi okumusikira ku bwakabaka mu Yerusaalemu, n'okukuuma Yerusaalemu nga kiri mirembe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye ku lwa Dawudi Mukama Katonda we n'amuwa ettabaaza mu Yerusaalemi okuyimusa mutabani we oluvannyuma lwe n'okunyweza Yerusaalemi: