1 Kings 15:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Dawudi yakola ekituufu mu maaso g'Omukama, era teyawunjukako ku ebyo byonna bye yali amulagidde ennaku zonna ez'obulamu bwe, okuggyako ekigambo kya Wuriya Omukitti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, n’agondera ebiragiro bya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwe, okuggyako ensonga ya Uliya Omukiiti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga Dawudi yakolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, n'atakyuka okuva mu kintu kyonna kye yamulagira ennaku zonna ez'obulamu bwe okujjako mu kigambo kya Uliya Omukiiti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Dawudi yakolanga ebyo Mukama by'asiima, era teyavanga ku ky'amulagira ennaku zonna ez'obulamu bwe, okuggyako mu kigambo ky'ensobi gye yakola ku Wuriya Omuhiiti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga Dawudi yakolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi, n'atakyuka okuva mu kintu kyonna kye yamulagira ennaku zonna ez'obulamu bwe wabula mu kigambo kya Uliya Omukiiti.