1 Kings 15:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entalo tezaatanga wakati wa Rekobowamu ne Yerobowamu obulamu bwabwe bwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne wabangawo entalo wakati w’ennyumba ya Lekobowaamu n’ennyumba ya Yerobowaamu ennaku zonna ez’obulamu bwa Abiyaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mulembe gwa Abiyaamu gwonna, waabangawo entalo ezaatandikawo wakati wa Lekobowaamu ne Yerobowaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mulembe gwa Abiyaamu gwonna, waabangawo entalo ezaatandikawo wakati wa Rehobowaamu ne Yerobowaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo waabangawo entalo eri Lekobowaamu ne Yerobowaamu ennaku zonna ez'obulamu bwe.