1 Kings 15:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Abiya na byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yuda. Entalo tezaatanga wakati wa Abiya ne Yerobowamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ebyafaayo ebirala byonna eby’okufuga kwa Abiyaamu, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? Ne wabangawo entalo wakati wa Abiyaamu ne Yerobowaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebikolwa ebirala byonna ebya Abiyaamu ne byonna bye yakola byawandiikibwa mu Kitabo eky'Eby'omumirembe gya bassekabaka ba Yuda. Ne wabanga entalo eri Abiyaamu ne Yerobowaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebirala byonna Abiyaamu bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo eky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Buyudaaya. Era waabangawo entalo wakati wa Abiyaamu ne Yerobowaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebikolwa ebirala byonna ebya Abiyaamu ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda? Ne wabanga entalo eri Abiyaamu ne Yerobowaamu.