1 Kings 16:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zimuri n'ayingira, n'amukuba, n'amutta; gwali mwaka ogw'amakumi abiri mu omusanvu ogwa Asa kabaka wa Yuda. Zimuri n'asikira Ela ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo, Zimuli n’ayingira n’amukuba n’amutta, n’oluvannyuma n’alya obwakabaka. Gwali mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zimuli n'ayingira n'amufumita n'amutta mu mwaka ogw'abiri mu musanvu (27) ogwa Asa kabaka wa Yuda, Zimuli n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zimuri n'ayingira, n'amufumita n'amutta, n'amusikira ku bwakabaka, mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omusanvu nga Asa ye Kabaka wa Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zimuli n'ayingira n'amufumita n'amutta mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afuga mu kifo kye.