1 Kings 16:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yafuuka kabaka, ng'atuuziddwa ku nnamulondo, n'atta ennyumba ya Baasa yonna; teyatalizaamu buli ayitibwa omusajja n'omu, ab'oluganda ne mikwano gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka nga kyajje atuule ku ntebe ey’obwakabaka n’atta abantu b’ennyumba ya Baasa bonna, obutalekaawo musajja n’omu wa luganda lwa Baasa wadde mikwano gye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Zimuli bwe yatandika okufuga, nga kyajje atuule ku ntebe ye, n'atta ab'omu nnyumba ya Baasa bonna, n'atamulekerawo mwana yenna wa bulenzi ava munda ye oba owa mikwano gye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zimuri olwamala okufuuka kabaka, nga kyajje atuule ku ntebe ye, n'atta ab'ennyumba ya Baasa bonna, obutamulekerawo mwana wa bulenzi, k'abe owuwe, oba ow'ab'ezzadde lye, wadde owa mikwano gye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yatanula okufuga, nga kyajje atuule ku ntebe ye, awo n'atta ennyumba yonna eya Baasa: teyamusigaliza mwana wa bulenzi, newakubadde ku nda ze newakubadde ku mikwano gye.