1 Kings 16:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Zimuri n'asaanyaawo ennyumba ya Baasa ng'Omukama bwe yali agambye ku Baasa ng'ayita mu Yewu omulanzi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Zimuli n’asaanyaawo ennyumba ya Baasa yonna, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa ng’ayita mu nnabbi Yeeku,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo Zimuli bwe yazikiriza ennyumba yonna eya Baasa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa nga ayita mu nnabbi Yeeku,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Zimuri n'azikiriza ab'ennyumba ya Baasa bonna nga Mukama bwe yayogera okuvumirira Baasa, ng'ayita mu Yeehu omulanzi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo Zimuli bwe yazikiriza ennyumba yonna eya Baasa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa mu Yeeku nnabbi,