1 Kings 16:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'abiri mu omusanvu ogwa Asa kabaka wa Yuda, Zimuri yafugira ennaku musanvu mu Tiruza. Eggye lyali lisiisidde Gibbetoni eky'Abafilisitiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Zimuli n’afugira e Tiruza ennaku musanvu. Eggye lyali lisiisidde okumpi ne Gibbesoni ekibuga ky’Abafirisuuti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'abiri mu musanvu (27) ogwa Asa kabaka wa Yuda Zimuli n'afuga Isiraeri e Tiruza okumala ennaku musanvu zokka. Aba Isiraeri baali basiisidde okulwanyisa ekibuga Gibbesoni eky'Abafirisuuti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu omusanvu nga Asa ye Kabaka wa Buyudaaya, Zimuri n'afuuka kabaka, n'afugira ennaku musanvu e Tiruza. Abayisirayeli baali basiisidde okulwanyisa ekibuga Gibbetooni eky'Abafilistiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu ogwa Asa kabaka wa Yuda Zimuli n'afugira ennaku musanvu e Tiruza. Era abantu baali basiisidde okulwana ne Gibbesoni eky'Abafirisuuti.