1 Kings 16:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nakugulumiza ne nkuggya mu nfuufu, ne nkufuula omukulembeze w'abantu bange Yisirayeli, ate ggwe n'ogoberera amakubo ga Yerobowamu, n'oleetera n'abantu bange Yisirayeli okugwa mu kibi, nange n'onnyiiza olw'ebibi byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula mukulembeze w’abantu bange Isirayiri, naye watambulira mu ngeri za Yerobowaamu era n’oyonoonyesa abantu bange Isirayiri, ne bansunguwaza n’ebibi byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula omukulu w'abantu bange Isiraeri; naawe otambulidde mu kkubo lya Yerobowaamu n'oyonoonyesa abantu bange Isiraeri okunsunguwaza n'ebibi byabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Wali toliiko bw'oli ne nkufuula mukulembeze wa bantu bange Abayisirayeli. Naye naawe ogoberedde empisa embi eza Yerobowaamu, n'oleetera abantu bange Abayisirayeli okwonoona, ne mbasunguwalira olw'ebibi byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nti Kubanga nakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula omukulu w'abantu bange Isiraeri; naawe otambulidde mu kkubo lya Yerobowaamu n’oyonoonyesa abantu bange Isiraeri okunsunguwaza n'ebibi byabwe;