1 Kings 16:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Zimuri n'olukwe lwe yakola byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyafaayo bya Bakabaka ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eby’afaayo ebirala eby’omu mirembe gya Zimuli, n’obujeemu bwe, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikolwa ebirala byonna ebya Zimuli n'obujeemu bwe bwe yajeema byawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebirala byonna Zimuri bye yakola, omuli n'olukwe lwe yakola, byawandiikibwa mu Kitabo ky'Ebyomumirembe gya Bassekabaka ba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Zimuli n'obujeemu bwe bwe yajeema tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?