1 Kings 16:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo abantu ba Yisirayeli ne beesalamu wabiri; ekitundu ekimu ne kigoberera Tibuni mutabani wa Ginati gwe baba bafuula kabaka, ate ekitundu ekirala ne kigoberera Omuri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ba Isirayiri ne baawukanamu ebibiina bibiri, ekitundu ekimu nga kiwagira Tibuni mutabani wa Ginasi okuba kabaka, nga n’ekitundu ekirala kiwagira Omuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu ba Isiraeri ne beetemamu ebibiina bibiri: ekibiina ekimu nga kiwagira Tibuni mutabani wa Ginasi okubeera kabaka; n'ekibiina ekirala nga kiwagira Omuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli ne beesalamu ebitundu bibiri: abamu nga baagala Tibuni mutabani wa Ginati gwe baba bafuula kabaka, abalala nga baagala Omuri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu ba Isiraeri ne baawulibwamu ebibiina bibiri: ekitundu ky'abantu nga bagoberera Tibuni mutabani wa Ginasi okumufuula kabaka; n'ekitundu nga bagoberera Omuli.