1 Kings 16:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abawagizi ba Omuri ne basinza amaanyi abaali bawagira Tibuni mutabani wa Ginati; Tibuni n'afa, Omuri n'afuuka kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abagoberezi ba Omuli ne basinza aba Tibuni mutabani wa Ginasi amaanyi; Tibuni n’afa, Omuli n’afuuka kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abaawagira Omuli ne basinga obungi abo abaawagira Tibuni mutabani wa Ginasi: awo Tibuni n'afa, Omuli n'alya obwakabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaagala Omuri ne baba ba maanyi okusinga abaagala Tibuni mutabani wa Ginati. Tibuni n'afa, Omuri n'afuuka kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abantu abaagoberera Omuli ne basinga abantu abaagoberera Tibuni mutabani wa Ginasi: awo Tibuni n'afa, Omuli n'alya obwakabaka.