1 Kings 16:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka gw'amakumi asatu mu ogumu ogwa Asa kabaka wa Yuda, Omuri n'afuuka kabaka wa Yisirayeli; yafugira emyaka kkumi n'ebiri; omukaaga yagifugira mu Tiruza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu ogumu ogw’obufuzi bwa Asa kabaka wa Yuda, Omuli n’alya obwakabaka obwa Isirayiri era n’afugira emyaka kkumi n’ebiri, mukaaga ku gyo ng’ali mu Tiruza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'asatu mu gumu (31) ogwa Asa kabaka wa Yuda Omuli n'atandika okufuga Isiraeri n'afugira emyaka kkumi n'ebiri (12), yafugira emyaka mukaaga e Tiruza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu ogumu nga Asa ye Kabaka wa Buyudaaya, Omuri n'afuuka Kabaka wa Yisirayeli, n'afugira emyaka kkumi n'ebiri. Yafugira emyaka mukaaga mu Tiruza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu gumu ogwa Asa kabaka wa Yuda Omuli n'atanula okufuga Isiraeri n'afugira emyaka kkumi n'ebiri: yafugira emyaka mukaaga e Tiruza.