1 Kings 16:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuri yakola ekibi mu maaso g'Omukama, n'ayonoona n'okukira bonna abaamukulembera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Omuli n’akola ebyali ebibi mu maaso ga Mukama, era n’ayonoona nnyo okusinga n’abo abaamusooka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'ayonoona okusinga bonna abaamusooka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuri n'akola ebibi n'anyiiza Mukama, n'ayonoona okusinga bonna abaamusooka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'agira ekyejo okusinga bonna abaamusooka.