1 Kings 16:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yagoberera amakubo ga Yerobowamu mutabani wa Nebati ne mu kibi kye kye yaleetera Yisirayeli okugwamu, ne banyiiza Omukama, Katonda wa Yisirayeli olw'ebifaananyi byabwe ebya balubaale omutali nsa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atambulira mu ngeri zonna eza Yerobowaamu mutabani wa Nebati, ne mu kibi kye, kye yayonoonyesa Isirayiri era n’asunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri olwa bakatonda beebeekolera abatagasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakolera ddala nga Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n'asunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri, olw'ebibi ebibye bye yakola, era naaleetera Abaisiraeri okwonoona nga basinza ebifaananyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakolera ddala nga Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, n'asunguwaza Mukama, Katonda wa Yisirayeli, olw'ebibi ebibye bye yakola, era n'olw'okuleetera Abayisirayeli okwonoona nga basinza ebitali Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga yatambulira mu kkubo lyonna erya Yerobowaamu mutabani wa Nebati ne mu bibi bye bye yayonoonyesa Isiraeri okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri n’ebirerya byabwe.