1 Kings 16:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omunaana ogw'obwakabaka bwa Asa kabaka wa Yuda, Akabu mutabani wa Omuri n'afuuka kabaka wa Yisirayeli. Akabu mutabani wa Omuri yali kabaka wa Yisirayeli mu Samariya emyaka amakumi abiri mu ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana ogw’obufuzi bwa Asa Kabaka wa Yuda, Akabu mutabani wa Omuli n’alya obwakabaka bwa Isirayiri, n’afugira Isirayiri mu Samaliya emyaka amakumi abiri mu ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu mwaka ogw'asatu mu munaana (38) ogwa Asa kabaka wa Yuda Akabu mutabani wa Omuli n'atandika okufuga Isiraeri; Akabu mutabani wa Omuli n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyaka abiri mu ebiri (22).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu omunaana nga Asa ye kabaka wa Buyudaaya, Ahabu mutabani wa Omuri n'afuuka kabaka wa Yisirayeli, n'afugira Yisirayeli mu Samariya emyaka amakumi abiri mu ebiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu mwaka ogw'amakumi asatu mu munaana ogwa Asa kabaka wa Yuda Akabu mutabani wa Omuli n'atanula okufuga Isiraeri: Akabu mutabani wa Omuli n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyaka amakumi abiri mu ebiri.