1 Kings 16:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo sikyamumalira eky'okutambulira mu bibi bya Yerobowamu mutabani wa Nebati, yayongerako n'awasa omukazi Yezebeli, muwala wa Etubaali, kabaka w'Abasidoni, n'agenda n'aweereza Baali, n'amusinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teyakoma ku kukola bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, naye era n’awasa ne Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w’Abasidoni, era n’atandika okuweereza n’okusinza Baali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akabu eky'okutambulira mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati teyakitya, naye n'agattako n'okuwasa Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w'Abasidoni, okwo n'ayongerako okusinza n'okuweereza Baali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eky'okukola ebibi nga Yerobowaamu mutabani wa Nebaati ne kitamumala, wabula n'assaako n'okuwasa Yezebeeli, muwala wa Etubaali, kabaka w'Abasidoni, n'atuuka n'okuba omuweereza wa Baali era n'amusinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, ng'akiyita kigambo kitono okutambulira mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n'awasa Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w'Abasidoni, n'agenda n'aweereza Baali n'amusinza.