1 Kings 16:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akabu yasimba empagi ya Asera; yakola n'ebirala bingi ebyanyiiza Omukama, Katonda wa Yisirayeli okukira bakabaka ba Yisirayeli abaamukulembera bwe baakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akabu n’akola n’empagi ya Baaseri, ne yeeyongera nnyo okusunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri, okusinga bakabaka abalala bonna aba Isirayiri abaamusooka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Akabu n'akola ekifaananyi kya Aseeri katonda omukazi; Akabu ne yeeyongera nate okukola eby'okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri okusinga bakabaka bonna aba Isiraeri abaamusooka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahabu era n'akola ebifaananyi bya lubaale omukazi Asera, ne yeeyongera okukola ebisunguwaza Mukama, Katonda wa Yisirayeli, okusinga bakabaka bonna aba Yisirayeli abaamusooka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akabu n'akola Baaseri; Akabu ne yeeyongera nate okukola eby'okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri okusinga bakabaka bonna aba Isiraeri abaamusooka.