1 Kings 16:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde bwe, Kiyeli ow'e Beteli yazimba Yeriko. Yawaayo obulamu bwa Abiramu omuggulanda we okubanga emisingi gyakyo, ne Segubi omuggalanda we okusimba emiryango gyakyo, nga Yoswa mutabani wa Nuunu bwe yali agambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku mirembe gya Akabu, Kyeri Omubeseri n’addaabiriza era n’azimba Yeriko. Era olw’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Yoswa mutabani wa Nuuni, Kyeri bwe yassaawo emisingi gyakyo, n’afiirwa Abiraamu mutabani we omukulu; bwe yazimba wankaaki waakyo, Segubi mutabani we asembayo obuto naye n’afa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mulembe gwe, Kyeri ow'e Beseri n'azimba buggya ekibuga Yeriko. Bwe yali ateekawo omusingi, n'afiirwa Abiraamu mutabani we omuggulanda, ate bwe yali awangamu enzigi zaakyo, n'afiirwa Segubi mutabani we omuggalanda, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Yoswa mutabani wa Nuuni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mulembe gwe, Hiyeeli ow'e Beteli n'azimba buggya ekibuga Yeriko. Bwe yali ateekawo omusingi, n'afiirwa Abiraamu mutabani we omuggulanda, ate bwe yali awangamu enzigi zaakyo, n'afiirwa Segubu mutabani we omuggalanda, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Yoswa mutabani wa Nuuni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku mirembe gye Kyeri Omubeseri n'azimba Yeriko: yassaawo emisingi gyakyo n'okufiirwa Abiraamu omubereberye we, n'asimba enzigi zaakyo n'okufiirwa mutabani we omuto Segubi, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera n'omukono gwa Yoswa mutabani wa Nuni.